Artist - Hawa Abale
Verse
Ampade amanyi n'obuyinza
Ampade obuwanguzi
Sitani ali wansi wange
teri dogo lyona
teri kikolimo kyona
teri kulamiliza kwona
kulilaba mukisa
nze gyendi
teri kitala kiwesedwa
eli obulamu bwange
kililaba mukisa
neda neda
nabuli lulimi
olugolokoka okukolimira
kulisalirwa omusango
ampade amanyi………
Nebwebaba ab'amasaza
Abo abafugila mubanga
Amanyi age'kizikiza
Tegayiza ooh okukiliza
Abalabe bwebaja nze okunumba
Balisasana mumakubo musaavu
Nabalambe bwebaja okulwanagana nange
Balivunama kubigere byange
Ampande amamyi………
(Oh sitani ali wansi wange)
Ngabweyawangula amagombe
Nazukila mu baffu
Nebyange bwona ebikwatako
Yabizukiza
N'ebyobyona mukwano
Ebilinga ebiganye
Linda lindako
Yesu bwaja akuwaguza.
Ampade amanyi……….